Ruth 4:17-22

17 aAbakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.

18 bLuno lwe lunyiriri lwa Pereezi:

Pereezi yali kitaawe wa Kezulooni,
19 cKezulooni yali kitaawe wa Laamu,
Laamu n’aba kitaawe wa Amminadaabu.
20Amminadaabu yali kitaawe wa Nakusoni,
Nakusoni nga ye kitaawe wa Salumooni;
21 dSalumooni yali kitaawe wa Bowaazi,
Bowaazi n’aba kitaawe wa Obedi;
22Obedi yali kitaawe wa Yese,
Yese n’aba kitaawe wa Dawudi.
Copyright information for LugEEEE